Olwaleero mu byafaayo;
Bwerwali bweruti nga 5-June-1972 eyali omukulembeze w’eggwanga Field Marshal Idi Amin Dada Oumee nassa omukono ku tteeka eriwera okwambala enkunamyo, empale n’ebiteteyi ebya makisi nga birina V. Abakyala bawerebwa okwamba Sikaati oba ebiteteyi nga bisukka yinsi 3 okubuuka amaviivi.
Abakyala bokka abaali mu maggye ne Poliisi bebakirizibwa bokka okwambala empale mu lukale wabula nga bali ku mirimu kwokka. Lino lyadirira etteeka eryali liwera abakyala okwambala engoye engingirire (Wigs).