Leero wabaddeyo ekitambiro okusabira Nyerere e Namugongo

Ku kiggwa ky’abajulizi e Namugongo wategekeddwayo ekitambiro ky’emmisa eky’enjawulo okusabira eyali Pulezidenti wa Tanzania, Julius Nyerere ng’emmisa ekulembeddwamu Rev Fr. Chrysostom Kyazze okuva e Tanzania.
Emmisa eno yetabyemu ebikonge eby’enjawulo okuli Ssaabalamuzi Alfonse Owiny-Dollo, Kaliisoliiso wa Gavumenti Beti Kamya, Minisita Kahinda Otafiire n’abalala kwossa bazzukulu b’omugenzi Nyerere.
Leave a Reply