Dr Hilderman avuddeyo n’ekiwandiiko ngadda mu Bebe Cool;
Mu 2016 nali omu ku bayimbi abatalaaga Yuganda okunoonyeza Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni,
era nga mu mazima twalina endagaano wakati wange ng’omuyimbi ne
Bannamateeka ba KK Advocates era nga nina okugisaamu ekitiibwa.
Naweebwa omulimu gw’okuyimba era nengukola nga ngoberera endagaano
gyenali nkoze era nensasulwa. Ku mulundi guno okunoonya akalulu kuno
kwamanyibwa nga Tubonganaawe era nga kwatongozebwa Munyonyo era nga
nayitibwa nga omugenyi. Omugenyi omukulu yali Pulezidenti Museveni era
bwatyo neyeyama okuwa abayimbi obukadde 400 bugende mu SACCO yaabwe. Bebe Cool yaweebwa omuzindaalo okwogera ku lw’abayimbi abalala.
Bwenali ku Sheraton olwegulo olumu, munange omu nankubira essimu nga
antegeeza nga Bebe Cool bweyali awa ssente abayimbi bonna abaali e
Munyonyo mukutongoza Tubonganaawe. Nakubire Bebe Cool essimu nangamba
musisinkane ku Serena bwenatuukayo Bebe Cool nantegeeza nti ssente
zeyali agaba zaali z’abo bokka abaali mu Luyimba lwa Tubonganaawe wabula
sibayimbi bonna. Nasalawo muviire ngende, wabula nali sinaggala luggi
Bebe Cool nampita nampa obukadde bubiri (2) era nansaba okuteeka omukono
wamu n’amannya gange ku lupapula asobole okulaga embalirira eri
eyamuwadde ssente nti era yaziwadde abantu abaalina okuzifuna. Bino
byenjogera byandibadde byeyolekera bulungi mu katambi ako lwakuba
eddoboozi yalijjeeko.
Okutereezaamu;
– Nali omu kubanoonyeza Pulezidenti Museveni akalulu mu 2016 era kino sikyegaana.
– Okusinziira kundagaano gyenakola ne Bannamateeka abampa omulimu nasasulwa ssente zetwategeragana.
– Endagaano gyetwakola yali yakiseera ekyo so si yalubeerera.
– Tewali bukwakulizzo bwonna obwanteekebwa mu by’obufuzi, ekitegeeza nti nalina eddembe nga Munnayuganda yenna.
– Bwekina nga ssente zino zaali za nsawo ya SACCO y’abayimbi, kyali
kimenya mateeka Bebe Cool okugamba ssente zino kuba yali alina zitwalira
bakulira SACCO yaffe ng’abayimbi.
– Nafuna obukadde 2 okuva ewa
Bebe Cool era nawandiika erinnya lyange ku lupapula era nenteekako
omukono, nabwekityo kyandibadde kyabuvunaanyizibwa mu ngeri yonna nga
ogezaako okwonoona erinnya lyange byonna nga bwebyali obireete nga
kuliko n’amaloboozi anti wagambye okola mbalirira.
– Bannayuganda
bandyagadde okumanya nga ggwe ow’ekitiibwa bwewasasaanya ensimbi zaabwe
bwekiba nga embalirira gyoyagala okukola tegenderera kwonoona linnya lya
muntu.
– Mu mutima mulungi nkusaba otegeeze Bannayuganda
ebikwatagana ne SACCO okutandika bituuse kuba waweebwa obuvunaanyizibwa
obwo nga bwewategeezezza.
Ngafundikira, Segaanangako kwenyigira mu
kunoonya kalulu ka NRM, amazima gali nti sakanoonya mu 2016 mwokka
wabula n’emyaka egyayita. Nkiddamu, mbadde wa NRM era nga sikikweka nga
era bwesikweka kulaga nti nakyuka.
Ekigendererwa kyaffe kugatta
bantu bonna so si kwawulayawula mu bantu. Waliwo ebintu bingi nnyo
ebirala ebiruma eggwanga, ebisinga zino entalo z’ekito zolimu. Ggwe nga
mukulu waffe wandibadde onoonyereza lwaki Abayimbi abawagira Muzeeyi
bamudduseeko. Omulimu gwewandibadde oliko kati kwewala kufiirwa ba
Hilderman abalala nga badda ku ludda oluvuganya Gavumenti bwoba nga
oyagala nnyo ekibiina kya NRM.
Kulwa Katonda n’ensi yange
Kiyaga Hillay Innocent. Dr Hilderman.