Abagoba ba Bodaboda 2 lukululana ebalinnye nebafiirawo mbulaga mbulaga mu ttuntu lya leero e Kigunga – Mukono.
Kigambibwa nti abagoba ba Bodaboda bano batomeraganye bwenyi ku bwenyi nebagwa mu luguudo wakati nga bawunze wabula lukululana ebadde yeetisse sseminti nga edda Mukono n’ebafootoola era nebakkirira ewa Ssenkaaba. Abantu bombi tebategeerekese bibakwatako..
Wabula yo lukululana ne Bodaboda biggyiddwawo nebitwalibwa ku Police e Mukono ate emirambo ggyo negitwalibwa mu ddwaliro e Mulago gyekebejjebwe. Kitalo nnyo.