Omuloodi wa Kampala Erias Lukwago ayagala okunnyonnyolwa okuva mu kitongole ekiramuzi ku ddi ensala y’omulamuzi Lydia Mugambe eyamuviirako okuggyibwa mu Woofiisi y’obwa Meeya lwegenda okukoma .
Kino kiddiridde Omuloodi okulemesebwa KCCA okuyingira Woofiisi ye olw’ekiragiro ekiriwo .
Ng’ayogerako ne bannamawulire mu makaage agasangibwa e Wakaliga mu Kampala , Lukwago agamba oluvannyuma lw’okulemesebwa okuyingira Woofiisi ye ku City Hall , obwanga abwolekezza amyuka Sssaabalamuzi Steven Kavuma amunnyonnyole .
Lukwago agamba nti agondedde nnyo ekimala ebiragiro ebibadde bimuweebwa naye mpaawo kikyuse ekiraga nti Gavumenti eyagala kulaga nti Lukwago ebyamuggyisa mu woofiisi byali bituufu songa kooti yasala nti yaggyibwayo mu bukyamu .