Pulezidenti ow’ekiseera ow’ekibiina kya Forum for Democratic Change ekiwayi eky’e Katonga Erias Lukwago olunaku olwaleero alangiridde nga bwebatandise okukungaanya emikono okwetoloola Eggwanga lyonna okubasobozesa okuwandiisa ekibiina kyaabwe ekiggya ekya People’s Front for Freedom.
Mu tteeka bano balina okukungaanya emikono 50 okuva mu Disitulikiti lwakiri 97 eza Uganda.
Bya Nasser Kayanja
#ffemmwemmweffe