lwakataka aziddwayo ku aliamnda

Omuvuzi w’emmotoka z’empaka, Ponsiano Lwakataka (42) azziddwa mu kkomera e Kawuga oluvannyuma lw’akulira abalamuzi abato mu Kkooti e Mukono, Juliet Hatanga okugaana okusaba kwe okw’okweyimirirwa.

Lwakataka avunaanibwa ne John Ssekitoleko (47) omutuuze w’e Rubaga mu kibuga Kampala nga bagasimbaganye n’omulamuzi Hatanga sso nga babadde bakiikiriddwa munnamateeka Samuel Eyotre ng’ate oludda lwa Gavumenti lukiikiriddwa omuwaabi wa Gavumenti Agnes Kiconco.

Lwakataka ne Ssekitooleko basomeddwa emisango ebiri okuli ogw’okusaalimbira ku ttaka eriri ku Block 111 plot 4918 ne 4917 erisangibwa ku kyalo Kiwanga-Lwanda mu Divizoni y’e Goma mu Munisipaali y’e Mukono ate omulala gwe gw’okwonoona ebintu bya George William Kawooya okwali n’ekisenge ky’ekikomera nga gino baagizza nga 12/1/2019.

Wabula abawawaabirwa omusango bagwegaanye olwo nga bayita mu munnamateeka waabwe, Eyotre, Lwakataka ne Ssekitoleko baasabye okweyimirirwa nga bawa ensonga omuli okuba nga balina ebirwadde ebyetaaga okulaba abasawo.

Eyotre yawaddeyo abantu basatu okweyimirira Lwakataka okuli bakyala be babiri; Rose Nassonko (42) ne Ruth Namyalo ssaako Antony Kaggwa nga ne ku Ssekitoleko naye yawaddeyo 3. Wabula omuwaabi wa Gavumenti bano abakubyemu ebituli n’asaba omulamuzi aleme kulowooza ku kyakubeeyimirira.

Omulamuzi ng’awa ensalaye ategeezezza nti wadde nga teri tteeka likugira muntu kuwaayo bakyalabe ng’abamweyimirira, abakyala ba Lwakataka abeekenneenyezza n’akizuula nga tebasaanidde olw’ensonga nti ssinga aba agaanye okuddayo mu kkooti tebalina busobozi bumuwaliriza kugenda kweyanjula nga kkooti bw’eba yamusaba.

Ku ludda lwa Ssekitoleko, kkooti yakizudde ng’omu ku baawaddeyo okumweyimirira abadde n’ebiwandiiko bibiri ebiriko amannya ag’enjawulo okuli endagamuntu ng’eraga Abby Kabuuka sso ng’ate ebbaluwa gye yafunye okuva ewa ssentebe w’ekyalo ebadde emulaga nga Abby Kibuuka.

Omulamuzi yayongezzaayo omusango okutuuka nga February 4, n’abasindika ku limanda mu kkomera e Kawuga gye bagenda okugira nga beebase okutuuka ku lunaku olwo. Bano abasabye okufuna ababeeyimirira abalala era nga bwe baba tebamatidde na nsalaye bajulire mu kkooti enkulu

Leave a Reply