Lwaki aba NRM bwebawangula by-election balayizibwa mu bwangu – Hon. Ssemujju

Omubaka akiikirira Kira Municipality Ibrahim Ssemujju Nganda avuddeyo nasaba Sipiika wa Palamenti Anita Among aveeyo annyonyole Palamenti lwaki kitutte ebbanga ddene okulayiza Omubaka omulonde owa Kawempe North Munnakibiina kya National Unity Platform Elias Luyimbaazi Nalukoola, mu ssaawa 24 oluvannyuma lwokulangirirwa ngomuwanguzi.
Ono awadde ekyokulabirako ekya Michael Mawanda owa Igara East eyalangirirwa enkeera nalayizibwa.
Ono asabye Sipiika abategeeze ddi Nalukoola lwanalayira.
Leave a Reply