Lwaki Ababaka temulumirirwa muntu wawansi? – Bobi Wine

Omubaka wa Kyaddondo East Robert Kyagulanyi Ssentamu aka Bobi Wine: “Olwaleero nsomye empapula z’amawulire ne newuunya ekikolwa ky’Ababaka banange nga bagamba nti beyongezza ensako nga bawa ensonga nti ebbeeyi y’ebintu n’ebyetaago erinnye mu Yuganda.
Babaka banange kyebaakoze kikyaamu nnyo okwelowozaako bokka neberabira Bannayuganda abakola ennyo so nga bafuna kitono mumbeera y’ebyenfuna ebanyigiriza ennyo.
Bwekiba nga Ababaka abafuna ensimbi eziwerako bagamba nti embeera ebanyigiriza, lwaki babigika Bannayuganda omusolo ogususse n’ebizibu ebirala?
Kyetwagala nti wabeewo obwenkanya mu mbeera yonna ne kumisaala egisasulwa abakozi ba Gavumenti nga; abasawo, anasomesa, abasirikale n’abalala.
Kinajjukirwa nti Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni mu 1997 yavaayo nategeeza nti guba musango Ababaka okufuna obukadde 4 so nga omusomesa wa Puliyamale afuna emitwalo 7 omwezi! Kyennyamiza okulaba nga sibwekiri!

Ekiteeso kino kyaleetebwa mu Palamenti nga nsibiddwa Poliisi mu maka gange. Naye nebwatwali kiwakanyizza ne babaka banange era kyandiyise kuba National Resistance Movement erina Ababaka bangi abandikiwagidde.
Kati kyetulina okukola kwekulonda abo abanatulumirirwa. Banange, tulina okwebereramu. Ebizibu byaffe bijja kugonjooka bwetunakitegeera nti ebyobufuzi kintu kikulu nnyo ekitasaanye kulekera Bannabyabufuzi bokka. #EkimalaKimala”

Leave a Reply