Katikkiro wa Buganda Charles Peter Mayiga avumiridde Abaganda abasomye abasuula olulimi lwabwe Oluganda ne badda mu kusosowaza Olungereza lwe batuuka n’okulwogerera ku mikolo egiri mu Buganda.
Bino baabyogeredde mu Kkanisa ya St.Apollo Kivebulaaya e Kansanga mu kusaba okw’okwebaza Katonda olw’okusobozesa omusomesa w’e Makerere Dr.Godfrey Ssebaggala Lusiba okumaliriza diguli ey’okusatu mu by’obulimi.
Katikkiro Mayiga yagambye nti bw’abeera ku mikolo gy’abasomye mingi olumu boogera batabikiriza Oluganda n’olungereza, olulala obubaka obuwandiike bwonna bubeera mu Lungereza era n’abamu lwe basinga okukozesa mu mbeera endala n’awabula kikome.
Kattikiro Mayiga yawadde Gavumenti amagezi ba yinvesita beereeta muno ensimbi basinge kuzissa mu by’okutumbula eby’obulimi kuba abasinga okukola omulimu guno baavu.N’akyukira Ssebaggala n’amusaba okuleeta enkyukakyuka mu mbeera z’abantu mu ggwanga naddala abalimi nga yeyambisa obukugu bw’afunye.
Omulabirizi w’e Namirembe eyamuwumula Samuel Balagadde Ssekadde eyakulembeddemu okusaba avumiridde omuze gw’obwenzi gw’abagamba nti gutuusizza n’abasajja abamu okuzaala abaana ebbali ne babakweeka olumu ababazadde n’okufa ng’abaana tebamanyiddwa ng’ekyewunyisa abamu bazaala ne mu baana baabwe.
Ssekadde yagambye nti abaana abazaalibwa ebweru w’obufumbo emirundi egisinga bamanyika bakitaabwe bafudde . N’agamba nti abaana ab’ekikula kino bakula tebafibwako nga n’olumu tebasoma. N’agamba nti kya nnaku okulaba ng’omuze guno tegusosodde Bakulisitaayo basiiba
Avumiridde abantu abatayagala kwebaza nga bafunye ebirungi nasiima ba Ssebaggala olwokumanya nti obuwanguzi bwe batuseko bubaddemu Katonda.
Dr Ssebggala yagambye nti essir agenda kulissa ku kuyamba balimi kwongera ku mutindo gw’ebikungulwa.N’agamba nti abalimi bakungula ebintu bingi kyokk ne bafiirwa olw’omutindo n’obutaba na butale bumala.
Omukolo gwetabiddwako minisit w’eggwanga ow’abavubuka Nakiwal Kiyingi n’omulabirizi wa West Buganda Henry Katumba Tamale ,Siipika w’olukiiko lwa Buganda nabalala.