Sipiika wa Palamenti Anitah Among avuddeyo nategeeza nti ekya Baminisita obutalabikako mu ntuula za Palamenti tekimuyigula ttama yadde nti tebamwagala n’omumyuuka we Thomas Tayebwa, wabula ye kyayagala nti balabikeko mu ntuula za Palamenti okwanukula ensonga ezinyiga Bannayuganda.