Lwaki mutulugunya abantu

Police Political Commissar AIGP Asan Kasingye yegasse ku bantu ab’enjawulo abavuddeyo okuvumirira okutulugunya kw’abantu abateeberezebwa okuba abazzi b’emisango nga bino bikolebwa ebitongole byebyokwerinda.
Yavuddeyo ku mukutu gwe ogwa Twitter nategeeza nti; “Omuntu yenna atulugunya munne alina kugenda mu ggeyeena.”
Kasingye okwogera bino kyazza oluvannyuma lwa National Unity Platform – NUP okuvaayo nekiraga Bannamawulire omukwanaganya w’emirimu gy’ekibiina mu Disitulikiti y’e Kasese Samuel Masereka nannyonyola bweyatulugunyizibwa ebitongole byebyokwerinda.
Masereka eyalaze ebiwundu ku mubiri nga n’ebimu bivaamu amasira mu bigere agamba nti yawambibwa abebyokwerinda ku lwokubiri nga 7-December-2021 natwalibwa ku Kasese Central Police Station eyo gyebamusibira akakookolo natwalibwa gyatategeera, wabula oluvannyuma yakitegeera nti yali Mbuya ku kitebe kya Chieftaincy of Military Intelligence (CMI).
Ono agamba nti bamukubisa amasanyalaze saako n’okumukuba okutuuka lweyazirika nga bamubuuza emirimu gya NUP, wa gyebajja ssente wamu n’enteekateeka zebalina.
Ono agamba nti era bafumba nga amazzi nebagayiwa mu bitundu byebayagala okukubamu era bakikola nga entakera. Ono agamba nti n’olumu yababuuza lwaki tebamutwala mu Kkooti kuba essaawa 48 zaali ziyiseeko nebamutegeeza nti ewaabwe kuba nebwebaagala okumutta basobola okukikola nga tewali nasabola kumanya.
Mukwogerako eri Bannamawulire, omwogezi wa Uganda Police Force CP Fred Enanga yavaayo nategeeza nti Masereka yali tanaggulawo musango gwonna ku Poliisi ku nsonga yokumutulugunya.
Leave a Reply