Pulezidenti Museveni bweyakyazizza Nnalulungi wa Uganda Quiin Abenakyo e
Rwakitura yamusiimye okuwuliriza ebigambo bye nakyuusa enviiri nasigaza
Katonda zeyamuwa era nategeeza nti Katonda yatonda abaddugavu n’enviiri
ennungi.
Wabula Andrew Mwenda avuddeyo namwababirira nga amutegeeza
nti okwambala enviiri engweri kitono nnyo kuba tekyenkana naye
kyeyakoze nga Pulezidenti Museveni okukozesa olulimi olugwiira gyoli
yabadde tasobola kukozesa Lunyankole, Lusoga oba Luswayiri okutuusa
obubaka bwe. Mwenda ayongerako nti Olulimi olugwiira kyekintu ekisinga
okuttatana Obuwangwa.