Lwaki Ssaabasajja Kabaka yafuula ekika ky’e Kinyomo e munyenye y’ebika ebirala.

Ku Monday ya sabbiiti ewedde nga 10 June, Ssaabasajja Kabaka yalambula obutaka bw’ebika mu Buddu omuli n’eky’e Kinyomo. Wabula obubaka bwa Beene ku butaka bw’e Kinyomo e Kyasa, bwali bwa nkizo kwobwo bweyawa ku Bika ebirala.

Ssaabasajja yasiima ab’e Kinyomo olw’okununula ettaka ly’ekika, naagamba nti ensonga eno ssi ntono era eBika bingi birina ebizibu by’obutaka ensonga ffenna gyetulina okulaba nga etereera.

Beene asiima Nakigoye ne Bazzukulu be

Ssaabasajja yagamba bwati;

“Twebaza Omutaka Nakigoye n’abazzukulu be olw’ekizimbe gaggadde kyetulaba wano olwaleero, era n’okubeebaza olw’emirimu gyebakoze n’enteekateeka zonna ez’ekika. Ekika kirina enteekateeka, ng’ekika kye Kinyomo kiringa e *munyenye* eraga ekkubo eri abantu abalala, mu ngeri eyo Nakigoye n’abazzukulu mujja kubeera e munyenye eri ebika ebirala”.

Bwotunuulira ekizimbe ky’okubutaka bw’e Kinyomo, kikulagira ddala nti bazzukulu ba Nakigoye bakwatidde wamu okulaakulanya ekika kyabwe.

Omutaka Nakigoye, Samson Nabbimba, yeebazizza Beene olw’okubakyalira ekibongedde amaanyi okwongera okumaakuma abaana ba Buganda babeere bumu.

Leave a Reply