Omubaka Abdu Katuntu akiikirira Bugweri County atabukidde abakulu okuva mu ssiga eddamuzi; “Waliwo ekintu ekyangu ennyo nga okuyimbula omuntu ku kakalu ka kkooti. Omuntu yenna ayongezaayo okuwulira okusaba kwokweyimirirwa okumala wiiki 2, liba ddalu lyennyini. Si kyabuvunaanyizibwa nakatono, tekiri mu mateeka, oyo aba tategeera. Kola okusalawo okumukiriza oba obutamukiriza, kyangu nnyo! Naye noyongerayo olutuula lwa Kkooti okumala wiiki 2 oba okusingawo osooke wekeneenye okusaba kuno! Kiko kyoba oliko? Kyokka abamu ku mmwe tubayita abekitiibwa abalamuzi. Lwaki tubayita abalamuzi naye nga temusobola kulamuza bwenkanya!?”
Lwaki tubayita abalamuzi nga temusobola kulamuza bwenkanya? – Hon Katuntu
