Nsomye bulungi alipoota y’Ekibiina ekirera eddembe ly’obuntu ku ngeri Bobi Wine gyeyakwatiddwamu wamu n’okutulugunyizibwa nga ekuba enyiike. Teyali mu kifo Convoy ya President gyebagikubira amayinja, wabula abasirikale ba SFC eggye erikuuma omukulembeze w’eggwanga abamukwata nebamutulugunya bamusanga mu kisenge kye mu wooteri weyali asula nga wayiseewo essaawa nnamba.
Okusinziira ku UHRC, Bobi Wine yabadde ayogera naye mu bulumi, nga tasobola kutuula, era nga bamukwatirira okutambula, kigambibwa nti abasirikale ba SC bwebayingira ekisenge mweyali bamukuba akatayimbwa, nebamusamba okutuuka bweyazirika. Kino kibi nnyo.
Kino kiraga nti abasirikale ba SFC bandiba nga bebayasa endabirwamu y’emotoka ya President okusobola okukikozesa nga ensonga ennyonyola lwaki batta Yasin Kawuma Ddereeva wa Bobi Wine, okukwata wamu n’okutulugunya abantu mu Arua. Era kino kindetera okwongera okubuusabuusa emmundu zebagamba nti bazisanga mu kisenge kye, kyandiba nga bebaziteekayo okusobola okunnyonyola ebikolwa byabwe ebyobukambwe.
Nabwekityo nkuwoola President Yoweri Museveni okuvaayo alagire bakwate abasirikale abo bonna abenyigira mubyonna ebyaliwo mu Arua. Tewaliiwo mbeera yonna esobola kuleetera basirikale ba SFC okweyisa nga abasirikale ba Idi Amin. Tuli mu mwaka 2018, muzuukuke. President bwasirika natabaako kyakola kijja kutegeeza nti awagira ebikolwa bino.
Kino njagala mukitegeere bulijjo; siwagira bantu babulijjo nebwebaba banyiize batya okukasukira emotoka z’omukulembeze w’eggwanga amayinja. Abakulembeze nga Bobi Wine basaanye babuulire abawagizi baabwe kino mu lulimi lwebategeera. Abakulembeze nga Bobi Wine, Mugisha Muntu, Kizza Besigye, Kasiano Wadri n’abalala basaanye baveeyo bavumirire abawagizi abakasuka amayinja eri emotoka z’omukulembeze w’eggwanga.
Singa abasirikale ba SFC batta abantu 20 nga baali bakasuka amayinja eri emotoka z’omukulembeze w’eggwanga nalivuddeyo ne mbawagira. Naligumidde okutiisibwatiisibwa abawagizi ba Bobi Wine nebwabalibadde bagamba kuntematema.
Saasira omuntu akuuma omukulembeze w’eggwanga balina akatikitiki kamu okusalawo ekyokukolera omuntu abeera alina kyakasukira emotoka y’omukulembeze w’eggwanga nga abeera tasuubira muntu kukasuka jjinja kuba teririyinza kumulumya. Ye abeera asuubira grenade nga kyalina okumukolera kumukuba masasi.
Kino tekiri ku Museveni wabula omukulembeze w’eggwanga. Bobi Wine alina obusobozi obumufuula President naye Katonda atusaasire. Abakuumi be nabo basobolera ddala okukola ekyo abakuumi ba President kyebali koze. Nabwekityo alina okubuulira abantu be bwebalina okweyisa wamu n’okuvumirira ebikolwa byabwe kino kijja kumuyamba okwetakulula ku bikolwa byabwe ebikyamu.
Sikiririza mu ndowooza ya Bobi Wine eyebyobufuzi era sirowooza nti alina vision yonna eya Uganda. Wabula nsobola okufa nga nwanirira eddembe lye obutatulugunyizibwa. Abasirikale ba SFC tebasaanye kwekwasa nti bakozesa busungu olwekyaliwo kuba teyali mu kifo webakasukira amayinja.
Bano okumutulugunya kyeyoleka lwatu nti basooka kwetegeka bulungi kuba kyaliwo luvannyuma lwassaawa nnamba nga ne President yavudde dda mu Arua mu nnyonyi sinakindi nga ali Ntebe yewumulidde.
Bannayuganda abakiririza mu ddembe mulina okuvaayo mwoleke enkola za Bobi Wine ezitali za ddembe nga alwana okununula eggwanga nga bwagamba. Enkola ye eyokukungaanya abantu abnyiivu naye nga tabategese bulungi kyabulabe eri eggwanga.
Nkimanyi bulungi singa Bobi Wine n’abawagizi be batwala obuyinza tebayinza kunzikiriza kuvaayo kubanenya kuba tebalina mulamwa gwebagoberera wabula okulwanyisa Museveni kyokka.
Wadde nga alina byakola ebyabannakyemalira ebiseera ebimu ebitongole byebyokwerinda okutulugunya abantu ndaba nga Museveni musajja aleka ekintu nebwekibba kimunyigiriza aleka abamuvuganya okukola byebagala. Nabwekityo, nvumirira okutulugunya Bobi Wine era nvuddeyo okulwanirira eddembe lye wadde nga siwagira ndowooza ye yabyabufuzi. Kino nkikola nga manyi nti Bobi Wine ya tasobola olunaku n’olumu kuvaayo kulwanirira ddembe lyange.