Makerere Yunivasite eggyewo okusoma kw’akawungeezi

Ssettendekero wa Makerere Yunivasite aggyewo okusoma kw'olweggulo (Evening Classes) okutandika n'ogwomunaana ku bayizi abanaayingira.

Okusoma kugenda kuba kwa kumakya ne mu ttuntu .Wabula abayizi ababadde basoma ku bo kigenda kusigala nga bwekibadde okutuusa nga bamalirizeeyo ebbanga lyabwe lyebalina okusomera.

Bino birangiriddwa amyuka Kyansala w'ettendekero lino, Kakensa Barnabas Nawangwe ng'asinziira mu lukungaana lwa Bannamawulire olwa buli mwezi olutuula ku ssettendekero.

Nawangwe agamba nti kino kivudde ku byetaago by'abasomesa ebiyitiridde byebasaba okuyimirizaawo okusoma kw'olweggulo nga n'okubateeka ku nninga olwa bino kubadde kususse ogw'obulamuzi. Abasomesa nti baali baalabula dda abakulira ettendekero lino ku kuwa abaana abapya ebifo ku soma akawungeezi singa baba tebakyususizza mu nkola yaabwe bbo ng'abaddukanya Yunivasite.

Kakensa ayongerako nti n'amasomo agasomesebwa akawungeezi tegasobola kusasula ssente zimala kusasula basomesa na byetaago byabwe mu budde obwo.

Nabwekityo okusoma kwakutandika ssaawa bbiri ezookumakya zikome kkumineemu ( Misana) ate okuva ku munaana okutuusa ku kkuminabbiri ez'akawungeezi (Ttuntu)  

Leave a Reply