Munnamateeka Male Mabiriizi avuddeyo nasaba ekiwandiiko ki bakuntumye eri Pastor Aloysious Bugingo wamu ne Mukyala we gweyakanjula Suzan Makula Nantaba.
Mabiriizi mu kusaba kwe kweyawaddeyo mu Kkooti y’e Entebe era ayagala n’abantu abalala 10 abaali ku mukolo bakwatibwa olwokubeera ku mukolo gwagamba nti gwali gumenya mateeka era nga singa omusango gusinga Bujingo abeera ayolekedde okusibwa emyaka 5.
Abantu 10 Mabiirizi bayagala bakwatibwe kuliko; Prof. Pastor Simeon Kayiwa, Frank Gashumba, Charles James Ssenkubuge, Paul Kato Lubwama, Simon Peter Kaswabuli, John V Sserwaniko, Dickson Mubiru, Isaac Daniel Katende, Nancy Kabahumuza ne Susan Nalwoga.
Mabiriizi era mu kirayiro kye ayagala abantu abalala 7 balabikeko mu Kkooti nga 21-January-2022 ngabajulizi abaliiwo ku mukolo guno. Bano kuliko omuwandiisi ow’enkalakkalira mu Minisitule y’ekikula ky’abantu Aggrey Kibenge, Executive Director wa Uganda Communications Commission Irene Kaggwa Sewankambo, Director wa Makerere Institute for Social Research, Kabaka wa Buganda oba Bannamateeka be, Registrar General wa Uganda Registration Services Bureau ne Ibra K Mukasa. Mabiriizi agamba nti abamu ku bantu bano baliwo ku mukolo era ayagala bakwatibwe.