Omubaka Munnakibiina kya Democratic Party Uganda – DP Hon Dr. Lulume Bayiga avuddeyo nasekerera Pulezidenti wa DP Norbert Mao namutegeeza nti tagenda kubeera Minisita mu Gavumenti ya Pulezidenti Yoweri Kaguta Museveni ate mu kiseera kyekimu asigale nga ye Pulezidenti wa DP nti bbo tebajja kuguminkiriza jjoogo lyakika kino.