Massa annyuse omupiira gwa Yuganda

Abadde emmunyeenye ya Yuganda, omuteebi ate nga y’akulira bazannyi banne (Captain) mu ttiimu y’eggwanga eya Uganda Cranes, Geofrey Massa myaka 31 awummudde okuzannyira ttiimu y’eggwanga omupiira. 

Massa waawummulidde omupiira gwa ttiimu y’eggwanga ng’agizannyidde empiira egisoba mu kinaana (80) nga n’ogwakasembayo gubadde gwa kikopo ekiwakanirwa amawanga agali ku lukalu lwa Afrika ogubadde e Gabon , era ng’agiteebedde ggoolo ezisoba mu 30 nga webutuukidde leero azannyidde ttimu y’eggwanga emyaka 12.

Mu bbaluwa Geoffrey Massa gy’akwasizza akulira ekibiina ekifuga omupiira mu ggwanga, Eng. Moses Magogo, yeebazizza abantu ab’enjawulo omuli abaali abatendesi ba ttiimu y’eggwanga nga Williamson Bobby, Lazio Zabba, Muhammad Abbas ne Micho aliko kati. Massa ayongeddeko okwebaza eyaliko Pulezidenti wa FUFA, Lawrence Mulindwa ne Eng . Moses Magogo aliko kati . Takomye okwo, wabula ayongedde neyeebaza bazadde be, mukyala we, Asuman Lubowa wamu nabuli alina kyamukoledde mu bbanga lyamaze  nga azannya omupiira era n’afundikira nga ayagaliza Uganda Cranes ebirungi ebyereere.

Wabula ekibiina ekifuga omupiira mu ggwanga ekya FUFA kisuubira okumutegekera omupiira ogumusiibula akadde konna.

Leave a Reply