Minisita avunaanyizibwa ku nsonga za Pulezidenti Milly Babalanda Babirye avuddeyo nasaba Bannayuganda obutakungiriza bungi bwansimbi ezaafulumiziddwa okukola mu lumbe n’okuziika Sipiika Jacob Oulanyah.
Ono asabye Bannayuganda okusooka okunoonyereza bamanye obunene bw’emikolo n’ebintu ebigenda okukolebwa saako n’ekitiibwa kyomuntu agenda okuziikibwa nga tebanayogera byantanantana.