Omuyimbi Melody, eyayimba ne Jose Chameleone “ Nkole ki” atutte kkampuni z’empuliziganya bbiri mu kkooti ng’ayagala bamusasule kawumbi olw’okukozesa ennyimba ze eziwera nga ‘caller tune’ oba ennyimba eziwulirizibwa omuntu akubye essimu nga tabawadde lukusa.
Ennyimba ezivaako kalumanyweera kuliko Nkole ki, Asinga, I love u, Jjangu, photo photo, Tondeka, vuuvumira, Yagimenya.
Melody amannya ge amatuufu ye Manson Kakooza kyokka mu kuyimba akozesa Melody. Emisango ebiri agitutte mu kkooti enkulu etawulula enkaayana z’ebyobusuubuzi mu Kampala nga giri ku fayiro CS 52 ne 53/2019.
Ng’ayita mu Bannamateeka be aba Tumwebaze, Atugonza, Kobusigye Advocates.
Ebiwandiiko bya kkooti byalaze nti Melody yaakabeera mu kisaawe ky’okuyimba okumala emyaka 8 ng’era mw’afuna ssente. Oluvannyuma lw’okuziwandiika okuziyimba n’okuzitunda agamba yakizuula nti kkampuni za MTN ne Airtel bazikozesa nga ‘caller tune’ eri bakasitoma baabwe nga babaggyako ssente.
Kkampuni zombi bwe yali aziwandiikira ng’azitegeeza ku nsonga eno, MTN yagisaba 900,000,000/- ate Airtel n’agisaba 100,000,000/-. Ku zino agattako eza balooya 20,000,000/-. Asaba kkooti eteekeewo ekiragiro ekibagaana okuzikozesa, okuwa embalirira kw’ezo ze bakozesezza n’okumuliyirira.