Gavumenti y’e Mengo erabudde Gavumenti ya wakati ku nnongoosereza mu bbago ly’etteeka ly’ettaka erya 2017 eriruubirira okuwa Gavumenti obuyinza okutwala ettaka ku bannannyini lyo nga tesoose kubaliyirira.
Kamalabyonna bwabadde ayogerera mu lukiiko lwa Buganda e Mengo, ategeezezza nti kino kyalisajjula enkolagana wakati w’abantu ne Gavumenti era n’awabula nti wabeerewo okusasula oba okuliyirira abantu nga tebannatwalibwako ttaka lyabwe.