MINISITA ABANTU ABAKWATIBWA TEBABAJJA MU BUGANDA WOKKA;
Hon. Nambeshe agamba nti yewuunya olukalala Minisita w’ensonga z’omunda lwasomye olwa Bannayuganda ababuzibwawo kuliko bantu okuva mu masekkati ga Yuganda bokka. Agamba nti waliwo abawagizi ba National Unity Platform – NUP abalala bangi abakwatibwa okuva mu buvanjuba bwa Yuganda abatamanyiddwako gyebali.