Minisita alagidde ebyapa ebyakolebwa e Buikwe bisazibweemu

Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’ettaka, amayumba n’okuteekerateekera ebibuga Judith Nabakooba alagidde ebyapa ebyakolebwa ku ttaka e Buikwe bisazibwemu era nalagira n’ensalo ziggulwe.
Minisita Nabakooba alagidde akakiiko k’ebyettak aka Disitulikiti y’e Buikwe okusazaamu ebyapa ebyaweebwa abantu 3 ku ttaka erisangibwa mu Kikondo Cell mu Njeru municipality. Abaweebwa ebyapa kuliko; Nicholas Byonanebye, Moses Buyondo, ne Irene Birah Nakkungu ngettaka lino lya; yiika 74, 44 na 30 nga lisangibwa ku Kyaggwe Block 323.
Nabakooba yalagidde RDC, Akakiiko k’ebyettaka akekitundu wamu n’aka Disitulikiti okuddamu okwerula ensalo z’ettaka lino. Ono yategeezezza nti agenda kuwandiikira Akakiiko okuva mu maka g’Omukulembeze w’Eggwanga aka Anti Corruption Unit wamu n’ekitongole kya Uganda Police Force ekya Police Land Protection Unit biyambeko okuzuula ani ali emabega wabino byonna.
Abantu abasoba mu 20,000 bebabadde bagobebwa ku ttaka luno ngera babadde basula ku tebuukye nga babatiisatiisa okubagoba.
Leave a Reply