Minisita w’Ebyobusuubuzi, amakolero n’obwegassi Amelia Anne Kyambadde olunaku lw’eggulo yasisinkanye Bannanyini bizimbe mu kampala (Arcade) nebakiriziganya ku birina okuteekebwawo okusobola okuggulawo arcade zitandike okukola. Ku bino kuliko;
1. Okukendeeza kubakolera mu arcade, nga balina okuleka abantu 3 bokka buli dduuka, nga bagoberera social distancing ya mita 2 wakati w’abasuubuzi abali mu dduuka.
Okuggyawo abo bonna abakolera mu nkuubo, ku maddaala. Okulamba ebifo abaguzi webanayimirira nga bagula era omuntu omu yanakolwangako.
2. Okwongera ku bakuumi ku miryango egiyingira n’okufuluma, okusaawo obuuma obupima abantu ebbugumu, webanaabira engalo n’okulongoosa enzigi, enkuubo, wamu ne wansi nga bakozesa sanitizer.
3. Abatembeeyi n’abatunda emmere tebajja kukirizibwa mu arcade.
4. Abasuubuzi ne ba kasitoma bakunaaba nga ne sanitizer mu ngalo wamu n’okwambala mask.
5. Abantu abetisse emigugu sibakukirizibwa kuyita mu arcade nga basala okugenda ku street endala.
6. Ba landiloodi bakukiriza abasuubuzi okukola nga bwebateesa eky’okusasula amabanja. Olukiiko lwabaddemu; Kirumira Godfrey, Hajj Kiggundu Hamis, Dr. Sudhir Rupaleria, Dr. Ntaganda Ephraim, Ssemambo Rashid ne Dr. Margret Ssekidde