Minisita Betty Among alagidde Munnansi wa China akwatibwe

Munnanasi wa China atanategeerekeka mannya olunaku lw’eggulo yakwatiddwa ku biragiro bya Minisita avunaanyizibwa ku kikula ky’abantu, abakozi n’embeera z’abantu Betty Among lwakumulemesa kulambula kkolero lya Sunbelt Industries okulaba embeera abakozi gyebakoleramu.
Minisita eyabadde ali ku mulimu gwokulambula embeera abakozi zebakoleramu mu makolero agali mu Mbalala n’e Namanve mu Disitulikiti y’e Mukono bweyatuuse ku kkolero lya Sunbelt, Munnansi wa China yamugaanyi okuyingira mu bifo ebimu nga agamba nti ono yabadde simuyite mu butongole okulambula ekkolero lino. Kino kyaleetedde abakuumi ba Minisita okukwata omusajja ono nebakwasa Poliisi yomu Namanve.
Oluvannyuma Minisita yayingidde mu kifo kya ‘pump and Steel section’ gyeyabadde amugaana okuyingira nasanga bakolera mu kifo ekikyafu nga n’abakyala 80 ku 100 abakola mu kkolero lino tebalina byambalo bibatangira bulabe, kabuyonjo gyebakozesa yajjula ngewunya nnyo, nga n’olubalaza lukiko amazzi amakyafu agatatambula.
Tewali mukozi yasangiddwa ngayambadde ekikofiira ekimutaasa obulabe nga nebyuuma mwebakolera bifulumya ebbugumu lingi ssaako n’okulekaana nga biyinza okubonoona amatu.
Bya URN
Leave a Reply