Minisita eyabba omuceere ne nnyama e Masaka ku mukolo gwa Gen. Muhoozi tomuyitanga? – Gashumba

Omumyuuka wa Ssentebe owa massekkati owa Patriotic League of Uganda, Frank M. Gashumba alumbye Director for mobilization, era Omubaka akiikirira Igara East mu Disitulikiti ye Bushenyi Michael Mawanda.
Kino kyaddiridde Gashumba okuvaayo nawandiika ku mukutu gwa X ngayagala abavunaanyizibwa ku byokwerinda mu Ggwanga okuvaayo bunnambiro bataase Bannayuganda ku bakifeesi ababatiggomya wabula Omubaka Mawanda namuyita Bunnambiro alabikeko mu Kakiiko akakwasisa empisa aka PLU ku kitebe e Naguru.
Gashumba yamwanukudde namutegeeza; “Oyinza otya okumpita ngomuntu atalina byakukola oba buvunaanyizibwa, ggwe nozuukuka buzuukusi nompita nti ndabikeko gyoli bukubirire leero!? Nkujjukiza nti siri mukozi wa Gavumenti nga ggwe afuna obukadde 30 n’okusoba buli mwezi.
Akakiiko kammwe akakwasisa empusa kazuukuse ku ka tweet kenawandiise ku nsonga zebyokwerinda ezitadde Bannayuganda ku bunkenke! Kinewuunyisa omuntu eyeyita omukulembeze okufuula kyempandiise ekyokukola mu kifo kyokukwatibwako ku nsonga y’abavubuka abatigomya Bannayuganda. Singa nabadde wakuyitibwa mu Kakiiko akakwasisa empisa, nandiyitiddwa CDF oba IGP, osinziira kuki okumpita, PLU kitongole kyabyakwerinda nti kirina okumpita ntangaaze ku nsonga yebyokwerinda gyenayogeddeko?

Kati nkutegeeza nti sisuubirayo bwenkanya okuva mu bantu bonyigiriza okukola byoyagala. Nekino kankikutegeeze ndi mu PLU lwa Gen. Muhoozi Kainerugaba, nkimanyi bulungi nti ggwe ne Daudi Kabanda muninako obukyaayi buyitirivu.
Nga bwosazeewo okumpita, ddi lwogenda okuyita mukwano gwo (Minisita) eyaswaza ba Mobilizer ba PLU bweyabba omucceere ne nnyama Gen. Muhoozi bweyakyaala e Masaka? Omuntu owebitiibwa ebyo byonna Hon. Minister afuuka atya ekingiringiri nabba ennyama n’omucceere ebyalina okuliibwa abantu abaavu abajja mu lukuŋŋaana? Essaala zokka tezisobola kutaasa Ggwanga lino.
Ye owaaye, tubuulire, ddi lwogenda ku kitebe kyaba mbega ba Uganda Police Force ku nsonga z’obukenuzi n’okubba ssente ezaali ezokuliyirira abantu abaavu ebebibiina byobwegassi eziri eyo mu buwumbi 164?”

Leave a Reply