Minisita Kasaija ayagala Bannayuganda baddemu okusasula layisinsi

BANNAYUGANDA BADDEMU OKUSASULA LAYISINSI ZE MOTOKA:
Minisita w’Ebyensimbi Matia Kasaijja aleese ebbago eriggya mu Palamenti erya Traffic and Road Safety ACT, nga lino ligenderedde okukola enongosereza mu kawayiro 14 gufuuke omusango oli okubeera n’emotoka etalina layisinsi.
Singa linaaba liyiseemu nerifuuka etteeka, kitegeeza nti buli alina emotoka ajjakusasulanga layisinsi buli mwaka nga kwotadde ne 3rd Party.
Akawayiro kagamba; “Omuntu tajja kukirizibwanga kubeera na motoka, tuleera oba okugikozesa ku luguudo okujjako nga asasudde layisinsi yaayo egikiriza ku luguudo.”
Ebbago lino ligamba nti layisinsi eno yakuweebwa nga agisabye okugifuna mu buwandiike nti era yakugabwanga Chief Licencing Officer owa Gavumenti nti era oyo anamenyanga etteeka lino wakusasula nga engasi ya one hundred currency points oba okusibwa ebbanga eritassukka mwaka gumu. Nga layisinsi eno olina okubeera nga ogisasudde buli weziwerera enaku zomwezi 31 January ezomwaka omuggya.
Bannayuganda basasula omusolo ku motoka zino nga bazigula era nga basasula n’omusolo ogwa 3rd Party buli mwezi.
Leave a Reply