Minisita w’ebyensimbi, Matia Kasaija yeetonze olw’ensobi ezaakolebwa Bbanka Enkulu olw’okulemwa okufulumya lipooti ezikwata ku bbanka ze bazze baggala.
Yabadde mu kakiiko ka COSASE akali mu gw’okubuuliriza ku bbanka ezaggalwa n’akasiima olw’okuyambako okulaga ensobi ezibadde zikolebwa mu Bbanka Enkulu.
Yakakasizza nga bw’agenda okuteeka ku nninga abakulira Bbanka Enkulu bafulumye lipooti zonna ezikwata ku bbanka omusanvu ezaggalwa okuli: Teefe, Crane Bank, Cooperative Bank, International Credit Bank, National Bank of Commerce ne Greenland Bank.
Yabadde ayanukula Abdu Katuntu (Bugweri) ssentebe w’akakiiko eyamutadde ku nninga annyonnyole oba nga yabadde alaba nga kyabulijjo okuggala bbanka ne balemwa okufulumya lipooti oluvannyuma lw’emyaka 20.
Yawadde eky’okulabirako kya Cooperative Bank. Ababaka era baabuuzizza aba Bbanka Enkulu okunyonnyola kwe baasinziira okuteeka obuwumbi 478 mu Crane Bank ng’ate baali bakimanyi bulungi nti abaali bagiddukanya baali beetaaga obuwumbi obutasukka 200 okudda engulu.
Louis Kasekende omumyuka wa Gavana yagambye nti eky’okuteekamu obuwumbi 478 baakikola kuba ly’ekkubo lyokka lye baali basigazza okwewala okukosa ebyenfuna.
Kyokka ababaka baakizudde nga tewali biwandiiko binnyonnyola ensaasaanya ya ssente zino mu bujjuvu.
James Kahooza atuula ku lukiiko olufuzi olwa Bbanka Enkulu yagambye nti etteeka lino okukyusibwa Gavana aleme kubeera nga y’addukanya emirimu gya bbanka nga mu kiseera kye kimu y’akulira olukiiko olufuzi kivuddeko obuzibu bungi.