Minisita w’enguudo n’entambula Gen. Edward Katumba Wamala wamu n’abakungu okuva mu Civil Aviation Authority Uganda balabiseeko mu Kakiiko ka COSASE akukulemberwa Munnakibiina kya National Unity Platform – NUP Hon. Joel Ssenyonyi ku bikwatagana n’endagaano ezakolebwa mukugaziya ekisaawe ky’ennyonyi eky’e Ntebe.