Minisita Kibuule alumiriza abawagizi ba Kiwanuka okukuba abantu be

Omwogezi wa Uganda Police Force owa Kampala Metropolitan Police SP Patrick Onyango avuddeyo nategeeza nga Poliisi mu Disitulikiti y’e Mukono bwetandise okunoonyereza ku misango okuli; okulumya omuntu, okuyuza ebifaananyi byeyesimbyeewo wamu n’okwonoona ebintu okwalieo ku kyalo Katoogo mu Disitulikiti y’e Mukono nga 19-12-2020.
Onyango agamba nti Mw. Abdallah Kiwanuka eyesimbyeewo ku Kifo ky’Omubaka wa Mukono North ku kkaadi ya National Unity Platform ( NUP) yakuba olukungaana mu Katoogo Trading Centre eyaliko abantu abasoba mu 200 nga baali tebagoberera biragiro byateekebwa Ministry of Health- Uganda n’akakiiklo k’ebyokulonda aka Electoral Commission Uganda nti era olukungaana lwayisa mu budde bw’essaawa ekkumi nebbiri ez’akawungeezi.
Kigambibwa nti mu lukungaana lwerumu, Onyango agamba nti abawagizi be balumya Joseph Lujja, 26, omutuuze w’e Buyuki mu Katoogo Parish Nama Sub County, eyali ayambadde t-shirt ya kyenvu eya National Resistance Movement – NRM bweyali ayita bano webaali bakubye olukungaana. Onyango agamba nti bano batandika okwonoona ebifaananyi bya Munnakibiina kya NRM Ronald Kibuule wamu n’ebintu ebirala.
Poliisi yakwatako abantu babiri okuli; Robert Kato ne Daniel Mutebi nga ekyanoonya n’abalala.
Leave a Reply