Minisita Lugoloobi ayimbuddwa ku kakalu ka Kkooti

Asst. Senior principle Omulamuzi w’eddaala erisooka Abert Asiimwe ku kusaba kwa Minisita Amos Lugoolobi okwokweyimirirwa ategeezezza nti ono talinaayo kiraga nti yali azizza omusango gwonna nga Ssentebe wa LC1 Katwere Kabogoza bweyamusembye nti era mutuuze we alina ettaka eriweza 0.016 hectares ng’ekyapa kiri mu mannya ge nga lisangibwa Makindye Lukuli Nanganda.
Oludda oluwaabi lutegeezezza nti Lugoloobi alina abamuwagira bangi nga kiyinza okutaataganya okunoonyereza wabula Omulamuzi nategeeza nti tewali bukakafu bulaga kino nti era tekimugisaako ddembe lya kweyimirirwa. Wabula alabudde Lugoloobi obutenyigira mu kutiisatiisa bajulizi kuba kino kyandireetera Kkooti okusazaamu okweyimirirwa kwe.
Abamweyimiridde 7 basabiddwa okuleeta kkopi za Bank Statement okukakasa nti ddala balina emirimu wamu n’ebyapa okulaga nti batuuze abatasenguke nkya.
Omulamuzi era ategeezezza nti okusinziira ku kya Lugoloobi okuba omukulu mu myaka ngate mulwadde eyetaaga obuwagizi bwa Famire ye ne mikwano gye, kwasinzidde okumuyimbula ku kakalu ka Kkooti era namulagira asasule obukadde 10 obwembagirawo, okuwaayo ekyapa kye ekyettaka okuli amaka ge, obutafuluma Ggwanga nga tafunye lukusa lwa Kkooti wamu n’okuwaayo Diplomatic Passport ye.
Bbo abamweyimiridde balagiddwa okuwaayo obukadde 100 buli omu obutali bwabuliwo.
Leave a Reply