Minisita Muyingo atangazizza ku masomo agaggwako

Omumyuuka wa Sipiika wa Palamenti Thomas Tayebwa avuddeyo nategeeza; “Olweggulo lwaleero, Omubeezi wa Minisita ow’ebyenjigiriza avunaanyizibwa ku matendekero agawaggulu, Owek. John Chrysostom Muyingo yayanjudde ekiwandiiko ku ‘masomo agaggwaako’ n’atangaaza nti ebisaanyizo by’abayizi abamaze Ddiguli oba Ddipulooma ku pulogulaamu ezifunye okukkirizibwa nga tebinnabaawo, okusinziira ku mutindo n’ebiragiro ebitandikirwako ebya National Council for Higher Education (NCHE) bituufu. Kino kiŋŋumizza nnyo era namwebaza olw’okunnyonnyola okwo okukulu.
Wabula nsabye Minisita obutakozesa bigambo by’amaanyi kuba birina engeri gyebikosaamu oba olyawo. Mubuuzizza lwaki okozesa ekigambo okuggwako (expiry)?
Muyingo era ategeezezza nti wadde nga beyambisizza ekigambo ‘Expired’ nti course zino ziba tezirina kusuulibwa mu kasasiro oba kuggibwawo nti wabula ebiba bisomesebwa biba byetaaga kuddamu kutunulamu babyekeneenya basobole okubituukanya n’omutindo.”
Sipiika alagidde Minisita Muyingo okuwandiikira NCHE ekyuuse ekigambo ‘Expired’ kyeyatadde ku masomo ago eteekeko ‘programmes under review’.

Leave a Reply