Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’ebyettaka Hon. @Judith Nabakooba avuddeyo nawanjagira Bannamityana okwenyigira mu nkola ya Gavumenti eya Parish Development Model.
Bino Nabakooba yabyogeredde mu Disitulikiti y’e Mityana gyeyabadde ayitiddwa abagoba ba Takisi nategeeza nti Gavumenti neteefuteefu okulaba nti eziba emyagaanya egireesewo obwavu mu bantu ng’eyita mu nkola ya PDM.
Agamba nti ekigendererwa kyakulaba nti abantu 39 ku 100 abatalina nsimbi gyebayingiza bafuna ekyokukola. Yasabye abo bonna abalina ebizibu n’emyooga okumuwandiikira ayogereko ne Minisita Haruna Kasolo abitereeze.
Ye Ssentebe wa Ppaaka y’e Mityana Gerald Mucuro yategeezezza nti emisolo egibabinikibwa gisusse obungi ekireetedde bangi okudduka mu mulimu guno so nga balina abantu abokulabirira.
Yayongeddeko nti emisolo gino sigyabwenkanya nga negimu tegiri mu mateeka nga bagenda ne mu Kkooti okugiwakanya.
Abagoba ba Takisi balumirizza ekitongole ekivunaanyizibwa ku kibuga Kampala ekya KCCA nti kyekobaana ne Military Poliisi okubakooza akagiri ku musolo ogutaliiwo mu mateeka. Minisita Nabakooba yagumizza abagoba ba Takisi nti agenda kwogerako nebekikwatako okulaba nga ebizibu byabwe bigonjoolwa omuli; IGP, DPC w’e Mityana, abaduumiira amaggye n’abalala.
Minisita nga tanasisinkana ba Takisi yasoose ku kyalo Mizigo okugumya Mw. Peter Kafuuma Kyeyune makanika w’obuggaali asula ku tebuukye olwabesomye okumugoba ku ttaka.
Kyeyune abadde yaweebwa ekiragiro kya Kkooti ekimugoba ku ttaka kwawangalidde obulamu bwe bwonna era nalagirwa n’okuliyirira oyo amugoba ku ttaka. Yalagidde RDC okufuna ebiwandiiko bya Kafuuma n’ebirala ebikwata ku ttaka luno, olwo ye Minisita Nabakooba abirondoole mu offiisi y’ebyettaka ku Disitulikiti e Mityana.
Kyeyune alumiriza Mukyala Leticia Nabisere, alabirira ettaka lya Kitaawe okumugoba ku ttaka lino nga lyali liweza yiika 2 wabula nga kati asigazza kumpi luggya lwokka.