Minisita Nabakooba atonedde eddwaliro ly’e Mityana ekyuuma kya Scan

Eddwaliro lya Gavumenti ekkulu E Mityana liriko Ekyuuma ekikozesebwa mukukebera abakyala ab’embuto kyerifunye okusobola okwanguyiza abasawo okuwa obujanjabi naddala eri bamaama ab’embuto.
Ekyuuma kino kiwereddwayo Minisita avunaanyizibwa ku ttaka, Amayumba N’enkulaakulana y’Ebibuga Hon. Judith Nabakooba ng’omu kukaweefube ow’okulaba nti abasawo banguyilizibwako mukukebera abakyala ab’embuto oluvanyuma olw’ebbanga lya myaaka esatu (3years) nga eddwariro lino teririna kyuuma kyeyambisibwa mu kukebera bakyala ab’embuto kiyite (Tv scan). Bwabadde akwasa abakulira eddwaliro lino ekyuuma, Hon. Nabakooba asabye abantu bano ekyuuma okukikozesa omulimu gwekirina okukola n’okukikwata mu ngeri ey’obwegandereza.
Akulira eby’obulamu mu Disitulikiti ey’e Mityana Dr. Kawooya Vincent agambye nti kati obujanjabi eri abakyala ab’embuto bugenda kubanguyira nga abasawo kubanga kibadde kitutte ebbanga nga ekyuuma ekikadde kyafa.
Eddwaliro ekkulu e Mityana buli mwezi lizaarisa abakyala abawerera ddala lukaaga (600) ate nga abakyala abali wakati w’olukumi n’enkumi ebbiri (1000-2000) ab’embuto bebakyaliira eddwaliro lino buli mwezi.
Leave a Reply