Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’etteka, amayumba nokuteekerateekera ebibuga Judith Nabakooba ayingidde mu nkayaana z’ettaka, abatuuze abawerako mwebabadde batiisibwatiisibwa okugobwa ku ttaka mu Disitulikiti y’e Luweero.
Nabakooba okuvaayo kiddiridde Pulezidenti Museveni okukyalako mu Disitulikiti eno abatuuze nebamutegeeza nga bwewaliwo ababagoba ku ttaka.
Nabakooba ngakolera wamu nabebyokwerinda nga bakulembeddwamu RDC Richard Bwabye Ntulume olunaku lw’eggulo bayise olukiiko lwabakulembeze olwatudde e ku Kitebe ky’e Gombolola e Kamira nabasisinkana abatuuze b’e Luweero abalina ebizibu ebyekuusa ku ttaka era bwatyo Minisita nalagira RDC okukola okunoonyereza ku nsonga ezanokoddwayo abatuuze amuwe alipoota enaluŋŋamya ku kinaddirira nategeeza nti tajja kuweera okutuusa ngamazeewo obubbi bw’ettaka.
Abatuuze be Mazzi nga bakulembeddwamu Ssentebe w’ekyalo Ponsiano Nyombi bagamba nti egombolola yatwala ettaka lyabwe eriweza yiika 64 nga kati ebagobaganya nga tenabalirira.
Abatuuze era bamutegeezezza nti waliwo omusuubuzi John Lumala agamba nti yennanyini ttaka erisangibwa ku Bulemeezi Block 558 ne 561 ku Plot 2 ne 5 era nga yabalagira baamuke ettaka lye.
Bamulumiriza okupangisa bakyalakimpadde okubonoonera ebintu ebyabwe.
Ye Willy Lwomwa ku lwabatuuze be Manyama mu Ziroobwe Sub County, ne Ramathan Bidandi bategeezezza minisita nti waliwo omusajja eyategeerekeseeko erya Rutangambwa eyafuna ekyapa mu lukujjukujju nti era bamukuba mu mbuga Kkooti neragira ekyapa kisazibwemu nti wabula waliwo omukungu wa Gavumenti eyabasaba ssente obukadde 100 ne yiika 100 ezettaka okubayamba okuteekesa ekiragiro mu nkola. Bano Minisita yabagumizza nti ensonga zonna zakukolebwako era nakubiriza abebibanja okusasula obusuulu mu budde
Yalagidde ne CAO okuyimiriza emirimu gye Gombolola gyonna ku ttaka eririko enkayana okutuusa nga buli kimu kiwedde.