Minisita owa guno naguli Hajji Abdul Nadduli asimattuse okugajambulwa abakulembeze b'ekibiina kya NRM abaayitiddwa okuva mu Disitulikiti y'e Mukono yonna oluvannyuma lw'okubasuubiza okubawa ensako ey'e mitwalo esatu esatu zebagambye nti ntono nnyo era nga tezibamala, batanudde okuwogganira waggulu ekiwalirizza ssentebe w'e kibiina mu Disitulikiti Hajji Ssebagala Twahili okuyita Nadduli annyonnyole abantu bano ekituufu.
Wabula Nadduli olukute akazindaalo avumye buvumi bakulembeze bano omubadde ba Ssentebe b'amagombolola, ba kkansala ba Disitulikiti wamu n'abesimbawo ko mu Mukono ku bbendera y'ekibiina kya NRN nebagwa olwo nebamukasukira obukyupa bw'amazzi okukkakana nga abaserikale bamuddusiza.
Olwo abakulembeze bano batandise okumuweereza ebisongovu nga kwotadde n'okumulangira okweyagaliza yekka mbu yalemera n'okuzzaayo emmotoka ya Disitulikiti , nebamugoba e Mukono obutadda.