Minisita Nakiwala wagalinnye gyegava – Hajji Ashraf Simwogerere

Hajji Simwogerere Ashraf Ashraf avuddeyo nayanukula Omubeezi wa Minisita avunaanyizibwa ku baana n’abavubuka Florence Nakiwala Kiyingi byeyayogedde;
“Asalaam alaikum.
Haaaaa my small sister Naakiiiiii, Naaaki wee. Hon Nakiwalaaaa, Hajj Ashraf nze nkuyita munange.
Mwanyinaze ebigambo oba byakusimatusse simanyi. Naye nakulabye wabadde otegeera bulungi. Wagambye nti Bannamasaka tebajja kulonda drug addict. Nkimanyi wabadde otegeeza Bobi Wine. Naye haaaaaa.
Mwanyinaze nga walugulidde ku patta. Ndaba nga oluggi eyalumenye. Kati omukulu ogenda mugamba otya. Nti wavodde abayaga?. Nga ate enaku zino “smoking njaga in public is a campaigning strategy in your party.
Werabidde nti oluyimba olusinga obuganzi mu party yo enaku zino olwa “AKALULU KAKO MUZEYI” eyaluyimba simuyaga mulwadde bulwazi. Era yaginywedde ensi yonna emulaba ku camera.
Munange no mwanyinaze nze njagadde kukulabula. Wegendereze enaku zino buli kyoyogera sooka ku kisengengejja. Naddala ekikwata ku muyaaye oyo.
‘YOU ATTACK OMUBANDA AT YOUR OWN RISK.’ Topapa kukasuka jjinja. Oja kukasuka ejjinja limu bbo bakudize ‘mayinja’ na ‘gayinja’.
Ekyo kyewayogedde ab’e Masaka bagenda kulagako ku Monday. Allah bwatutuusayo. Ojja kukyejjusa olowooze nokulowooza nti Bannamasaka bonna banywi ba njaga. Go slow my sis TOKYAMUKA munange..
Naye nga beera bulungi. Nze nzizeeyo e Lubaga division ku ntebe ya Mayor ngiswaaamye. In Sha Allah.”
Leave a Reply