Minisita Namuganza atabukidde Sipiika Kadaga

Minisita omubeezi ow'ebyettaka, era omubaka mu Palamenti ow'essaza  lya Bukono mu Disitulikiti y'e Namutumba,  Persis  Namuganza agugumbudde Sipiika wa Palamenti  Rebecca Alitwala  Kadaga era n'amulabula akomye bunnambiro okumwogerako  ebyasswakaba sso era amugobye obutaddamu nate  kulinya mu Bukono.

Kino kiddiride Kadaga gyebuvuddeko bweyagenda mu Bukono  n'akola emikolo egy'obuwangwa n'en'ono okutongoza Mutyaba Godi nga Nkono (Royal Chief) wa Nkono chiefdom abatuuze gwe bagamba nti ssi mutuufu ku kifo kino.

Era ku mukolo guno, nti Kadaga yayogera ebigambo bingi ebivumirira n'okutyoboola  Persis Namuganza, so wanoMinisita  w'aviiriddeyo n'alabula Kadaga  amwesonyiwe. 

Namuganza anokoddeyo bingi Kadaga byagenze akola okulemesa enkulaAkulana omuli okulemesa Dr. Wandira Kazibwe ebyobufuzi nebirala era nga bono Namuganza abyogeredde ku mikolo gy'ookutongoza naikonto Abazungu okuva mu ggwanga lya Netharland  gyebaasimira  abatuuze ku kyalo  Ivukula n'alangiriria Kadaga okumumalako emirembe n'okulemesa enkulaakulana.

Leave a Reply