Minisita Nandutu asindikiddwa ku alimanda mu kkomera e Luzira

Omubeezi wa Minisita avunaanyizibwa ku nsonga z’e karamoja Hon. Agnes Nandutu asindikiddwa ku alimanda mu Kkomera e Luzira okutuusa Kkooti Enkulu gyasindikiddwa okuwulira emisango gye bwenamuyita ku misango gyokukubeera n’ambaati agabulankanyizibwa negakyuusibwa gyegali galaga e Karachunas mu Karamoja Subregion.
Nandutu Omubaka omukyala owa Disitulikiti y’e Bududa yalondebwa okubeera Omubeezi wa Minisita mu June 2021 yayitibwa mukama we Mary Goretti Kitutu namuwa amabaati 2000 okugagabira abantu abaali bakoseddwa amataba e Bududa era nga gamuweebwa Abaho Joshua Omuwandiisi mu Offiisi ya Ssaabaminisita nga naye anoonyezebwa. Kigambibwa nti ku mabaati 2000, amabati 1679 gegafuniddwa nga amalala 221 Nandutu yalemereddwa okunnyonyola wa gyegalaga.
Minisita Nandutu taweereddwa mukisa kusaba kweyimirirwa yadde nga Minisita banne n’Ababaka ba Palamenti babaddewo okumweyimirira. Ono asindikiddwa ku alimanda okutuusa Kkooti Enkulu gyasindikiddwa okuwulira emisango gye bwenamuyita.
Bwabadde ayogerako eri Bannamawulire ngatwalibwa mu Kkomera agambye; “Nzikiriza nti bambatizza na muliro naye ndi mugumu. Naye lwaki basindise mu Kkooti Enkulu so nga Kkooti eyawansi (Anti-Corruption) erina obuyinza okuwulira omusango ogunvunaanibwa?”
Leave a Reply