Abakirizza ba St. Andrews e Kiyeyi mu Nabuyoga Town Council mu Disitulikiti y’e Tororo basobeddwa eka ne mu kibira oluvannyuma lw’omubeezi wa Minisita avunaanyizibwa ku byokwerinda Jacob Oboth Oboth okukima amabaati geyali abawadde okuva mu Offiisi ya Ssaabaminisita.
Oboth ye Mubaka akiikirira West Budama Central yali yatona amabaati 137 bagaserese ennyumba y’omubuulizi wa St. Andrews Church of Uganda. Wabula kigambibwa nti ku lwokuna lwa wiiki ewedde abakuumi ba Minisita ono bagenze ku sitoowa z’ekkanisa gyebaali baterese amabaati gano nebagaggyayo ekyamazeewo essuubi lyabagoberezi abaali besunze okulaba nti Omubuulizi waabwe alina ennyumba emusaanira.
Owere Beswere omu ku bakulembeze mu Church agamba nti kyabakubye enccekwe okulaba nti amabaati agaali gaweereddwa Ekkanisa ate gatwalibwa nga waliwo abagawa abantu obuntu.
Minisita Oboth yali yatonera Mulanda Church of Uganda amabaati 167, nga eno yabudamyako Bannansi ba Kenya abaali babundabunda oluvannyuma lwobutabanguko obwaliwo oluvannyuma lwakalulu mu Kenya, n’amalala 100 nagawa Muwafu Primary School.