Minisita omubeezi owa Kampala era Omubaka Omukyala owe Mubende atenderezza Ssaabasajja Kabaka olw’okusiima okukuliza amatikkira ge e Buwekula kyagambye nti kigenda kulwanyisa obusiwuufu bwe mpisa mu bantu.
Bino byonna Nalongo Benny Namugwanya Bugembe abyogeredde mu lukiiko lw’essaza oluteekateeka emikolo gyonna egyokubeerawo nga 31 – July – 2017.
Namugwanya ategezezza nti emikolo gino gya kuyamba byansusso okumanyisa banabuwekula obuwangwa ne ennono naddala mu baana abato kwogatta n’abantu abakulu bwatyo nakubiriza banabuwekula okujjumbira emikolo gino.