Minisita w’Abavubuka, Emizannyo n’Okwewummuza, Owek Henry Sekabembe Kiberu atalaaze Amasaza ga Buganda agawerako mu Buganda nga abunyisa enjiri y’okubangula abavubuka mu by’obukulembeze n’enkulaakulana.
Mu lutabaalo olwa Sabbiiti ennamba, Owek Sekabembe yalutandikira Kyaggwe, eyo gyeyavudde naayolekera Buddu, Ssesse, Kooki, ne Kabula.
Mu ntanda gyasibiridde abavubuka kuliko,; Okwenyigira mu bukulembeze, okumanya emirimu egy’ekifo ky’obukulembeze omuvubula kyayagala okuvuganyako, Okuzimba enkola y’obwegassi nga bayita mu nkola ya Fisa, Tereka, Siga, abavubuka okutandikawo ebibiina ebisikiriza abasizi b’ensimbi.
Mu lutabaalo luno Owek Ssekabembe awerekeddwako Owek Joseph Balikuddembe Ssenkusu Ssentebe w’akakiiko akalondesa abakulembeze mu bibiina by’Abavubuka ba Buganda, omukwanaganya w’Abavubuka ba Buganda,Owek Hassan Kiyemba n’abalala.