Mukyala w’omukulembeze w’eggwanga nga ono ye minisita w’ebyenjigiriza mu ggwanga Janat Kataha Museveni asabye abasajja abanywa omwenge neberabira okulabirira abaana baabwe omuli okubamma ebyetaago wamu n’ekyemisana ku ssomero okugwesonyiwa.
Muky. Janat agenda atalaaga ebintundu by’eggwanga ebyenjawulo nga asomesa abazadde okuwa abaana baabwe ebyokulya ku ssomero n’omugaso ogukirimu.
Yasabye abasajja okwesonyiwa omwenge lwakiri enaku bbiri batereke ssente basobole okugulira abaana baabwe container mwebanatwalira emmere ku ssomero. Yayongedde nagamba nti bano bebakulembeze abenkya era tebasaanye kusomero kumbuto nkalu.