Minisita w’ebyobuwangwa Ennono n’Obulambuzi alambudde Amasiro ga Ssekabaka Kimera

Owek Kyewalabye Male David ne Tiimu Ya Buganda Land Board nga ekulembeddwamu Ssenkulu Simon Kabogoza, Bashir Kizito Juma n’abalala batukizza kaweefube w’okutalaaga ebifo by’ennono byonna mu Buganda n’okulondoola abasenze abali ku ttaka wamu n’ebyobugagga ku bifo bino.
Ku mulundi guno kaweefube bamututte Bumera mu Busiro ku Masiro ga Ssekabaka Kimera. Baaniriziddwa Nnaalinya wa Masiro gano Saudah Nabanaakulya abalambuzza wamu n’okubaloopera ebifa ku Masiro gano.
Owek Kyewalabye asinzidde wano naakubiriza abantu obutesenza ku Ttakka lya Masiro wamu n’ery’ennono mu bitundu yonna gyerisangibwa.
Owek Kyewalabye asabye ba Ssentebe be byalo abakola endagaano ku Ttakka lyennoono bakikomye mu bunambiro nti Obwakabaka bujja kusala amagezi gonna okujjawo abo abesenza ku ttaka lino.
Mu kaweefube w’okulondoola wamu n’okutereeza embeera y’ebifo by’ennono, Owek Kyewalabye Male alambudde ebifo ebiwerako omuli Naggalabi awatikkirirwa Kabaka, ku butaka bw’ekika ky’e Kibe mu Kyaggwe wamu n’okusimba olusuku lw’empoomereze ya Kabaka, Ennyanja ya Kabaka n’awalala.
Leave a Reply