Minisita w’eby’obuwangwa Ennono n’Obulambuzi ne Ssenkulu wa Kabaka Foundation balambudde ebiyiriro bya Ssezibwa e Lugazi ng’omu ku kaweefube w’okulaba nga biddamu okukuuma obuwangwa wamu n’okutumbula eby’obulambuzi mu bwakabaka.
Bwabadde alambula ekifo kino, Owek David Kyewalabye Male agambye nti Ebiyiriro bya Ssezibwa kifo kya byabuwangwa era waliwo ensonga nnyingi ezebyobuwangwa eziwanuuzibwa mu kifo ekyo era olw’obukulu bwakyo y’ensonga lwaki Ssekabaka Daudi Chwa, Muteesa ne Ssaabasajja Kabaka Ronald Muwenda Mutebi II baasimbawo emiti okwongera okulaga obukulu bwakyo.
Wabula Owek Kyewalabye alaze obwennyamivu olwabo abeesenza mu kifo kino naagamba nti ebifo by’obuwangwa bingi birumbiddwa naye bagenda kusisnkana abantu abaafuna obuyinza ku kifo kino kubanga enkola mu bwakabaka eraga nti ebifo byonna eby’obuwangwa n’ennono bibeera mu mikono gya Bwakabaka teri muntu ssekinoomu abirinako buvunaanyizibwa.
Asinzidde wano naalabula bannakigwanyizi nti ebifo nga bino babitalize era babyesonyiwe kubanga bitegeeza kinene nnyo eri obwakabaka.
Ssenkulu wa Kabaka Foundation Omuk. Edward Kaggwa Ndagala ategeezezza nti abantu bangi beesenzezza ku bifo by’obwakabaka nga bakozesa ejjoogo nga tebafuddeyo ku nsibuko nabukulu bwabyo ate nga ebifo nga bino gwemutima gw’obwakabaka era bagenda kwogeraganya n’abeesenza mu kifo kino balabe bwekinunulwa.
Mu kulambula kuno, Minisita awerekeddwako Ssenkulu wa Buganda Heritage And Tourism Board Carol Nnaalinnya n’abaweereza mu kitongole kino