Ssentebe w’akakiiko k’ebyettaka mu Ggwanga Omukyala Beatrice Byenkya Nyakaisiki yavuddeyo olunaku lw’eggulo nalumiriza eyali Minisita w’ebyettaka n’enkulakulana y’ebibuga Betty Amongi okubulakanya ssente z’ekitavvu kya Kakiiko kano akamanyiddwa nga ‘Land Fund’ mu biseera weyaberera Minisita mu Minisitule eno.
Bweyabadde alabiseeko eri Akakiiko ka Palamenti akanoonyereza ku mivuyo wamu n’ebitakwatagana mu mbalirira eyenyongereza eya Land Commission ya buwumbi 12 nga mwemwali okuliyirira Dodovic Mwanje eyamenya ekkanisa ya Ndeeba Church of Uganda ne Medard Kiconco eyagoba abantu b’omu Lusanja wamu n’abalala. Byenkya yategeezezza nti Minista aliko kati beti Kamya naye yawamba obuyinza bw’Akakiiko ke natuuka nokuleeta embalirira eyogerwako mu Palamenti nga takitegeddeko.
Byenkya agamba nti Minisita Amongi yennyigira mu buvuyo bunyo mu Minisitule y’ettaka nti ate ye Minisita Kamya abantu beyateeka ku lisiti y’okufuna ssenta abamu baali basasulwa dda ssente ezalina okubaliyirirwa nti era ne Geoffrey Mugisha si mulwadde nga Minisita bweyategeeza Palamenti.
Byenkya agamba nti bangi ku bakozi mu Uganda Land Commission bayingirirwa dda ba mafiya nti era benyigira mu buvuyo bw’ettaka.