Minisita w’Obuwangwa Ennono n’Obulambuzi Oweek David Kyewalabye Male wamu n’abaweereza mu kitongole ky’e by’obulambuzi mu Bwakabaka balambudde ebifo by’ennono okuli Naggalabi gyebatikkirira Omulangira afuuka Kabaka, ne ku Masiro ge Kasubi.
Ekigendererwa kyokulambula kuno kwekusala amagezi ku kiki ekiyinza okukolebwa okulaba nga ebifo bino bitumbulwa okufuula eby’amaanyi mu by’obulambuzi.
Mu kulambula e Naggalabi bayambiddwako Ssemanobe, ate e Kasubi bakulembeddwamu Katikkiro w’amasiro ago.
Oweek Kyewalabye Male yatandika kaweefube wokulambula ebifo by’ennono yonna gyebiri era ku ntandikwa y’omwezi guno yalambula ebiyiriro bye Kalagala mu Bugerere n’ebiyiriro bya Ssezibwa e Kyaggwe