Minisitule y’ebyettaka eragidde BLB ne Ham okwerula ensalo z’ettaka

Omuwandiisi ow’enkalakkalira mu Offiisi y’ebyettaka Opio Henry Ogenyi avuddeyo nawandiikira CEO wa Buganda Land Board ku nsonga y’ettaka erisangibwa ku Kyadondo Block 273, Plot 38 (Mailo Title) ne Kyadondo Block 273, Plots (23974, 23975, 23976 and 23977).
Mu bbaluwa ye gyeyawandiika nga 24-May-2022 yakyoleka lwatu nti okusinziira ku kunoonyereza nti ettaka eriri ku Plot 23974, 23975, 23976 ne 23977 liriraanye eriri mu plot 38 ng’ettaka lino lyonna lisangibwa ku Block 273. Basalawo nti beerule ensalo wakati wa plot 23974, 23975, 23976 ne 23977 ne plot 38 ku Kyadondo Block 273.
Kinajjukirwa nti Omusuubuzi Hamis Kiggundu avuddeyo enfunda eziwera ngayagala beerule ensalo zino wabula nebavaayo nebategeeza nti alwanyisa Kabaka no Buganda okusinziira ku ye.
Ono agamba nti akyebuuza lwaki BLB ekyawakanya ekyokwerula ensalo okusobola okwawula ettaka lya Mayiro nerya Gavumenti.
Leave a Reply